Fahad Bayo
Bayo Aziz Fahad munnayuganda omuzannyi w'omupiira gw'ebigere azannyira ttiimu ya Bnei Sakhnin mu Israel Premier League. Bayo aazannyidde Uganda mu mipiira gy'amawanga.[1]
Emipiira gy'abavubuka
[kyusa | kolera mu edit source]Bayo ye yasinga okuteeba ggoolo ennyingi mu mpaka z'omupiira gw'amasomero ga sekendule mu ggwanga eza Copa Coca Cola mu 2014. Yateeba ggoolo 11 ng'ateebera bannantameggwa aba Kibuli SS.
Emipiira gw'ensimbi
[kyusa | kolera mu edit source]Proline FC
[kyusa | kolera mu edit source]Yeegatta ku Proline FC mu 2014 ng'alina emyaka 16. Yazannya emipiira 25 era n'aateeba ggoolo 16 mu sizoni ya 2015-16 mu Uganda Big League.
Enzannya ye yayambako Proline FC okusuumuusibwa mu Uganda Premier League.
Mu sizoni ya 2016/17, yateebera Proline ggoolo mukaaga. Yazannya emipiira 18.
Bayo yazannyako kitundu ku mupiira gya sizoni ya 2017-18 egya Uganda Premier League. Yateeba ggoolo mukaaga mu mipiira 14 egya league. Yeegatta ku ttiimu ya Buildcon FC ey'e Zambia nga sizoni ewummuddemu.
Buildcom FC
[kyusa | kolera mu edit source]Ku myaka 18, Bayo yeegatta ku ttiimu ya Buildcon F.C. ey'e Zmbia mu JGwolubereberye 2018. Yateeba ggoolo mwenda era n'ateekawo ggoolo mukaaga mu mipiira 16.
F.C. Ashdod
[kyusa | kolera mu edit source]Nga 27 Ogwomusanvu 2020 yassa omukono ku ttiimu ya Israel Premier League, FC Ashdod.
Omwaka | Ttiimu | Emipiira gye yazannya | Ggoolo ze yateeba |
---|---|---|---|
2018- | Buildcom FC | 16 | 9 |
2014-2018 | Proline FC | 68 | 30 |
Friends of Soccer Academy |
Ttiimu y'eggwanga
[kyusa | kolera mu edit source]Bayo yayitibwa omutendesi Sebastien Desabre ku ttiimu y'eggwanga lya Uganda ey'abakulu mu Gwokusatu 2018 mu luwummula kw'emipiira gy'amawangaa. Bayo yazannya emipiira gyombi egy'omukwano nga battunka ne Sao Tome kw'ossa Malawi.
Ggoolo ku ttiimu y'eggwanga
[kyusa | kolera mu edit source]- Ggoolo za Uganda z'ezisooka..
No. | Ennaku z'omwezi | Enfo | Omulabe | Ebyavaamu | Ekivuddemu | Okuvuganya |
---|---|---|---|---|---|---|
1. | 19 Ogwekkumi 2019 | Ekisaawe kya StarTimes, Kampala, Uganda | Burundi | 1-0 | 3-0 | <a href="https://en.wikipedia.org/wiki/2020_African_Nations_Championship_qualification" rel="mw:ExtLink" title="2020 African Nations Championship qualification" class="cx-link" data-linkid="207">Okusunsulamu kwa 2020 African Nations Championship</a> |
2. | 17 Ogwekkuminoogumu 2019 | Ekisaawe kya Mandela National Stadium, Kampala, Uganda | Malawi | 2-0 | 2-0 | 2021 Africa Cup of Nations qualification |
3. | 7 Ogwekkumineebiri 2019 | Ekisaawe kya StarTimes, Kampala, Uganda | Burundi | 2-0 | 2-1 | Ekikopo kya CECAFA 2019 |
4. | 17 Ogwekkumineebiri 2019 | Ekisaawe kya Lugogo, Kampala, Uganda | Tanzania | 1 0 | 1 0 | |
5. | 7 Ogwekkumi 2021 | Ekisaawe kya Nyamirambo Regional Stadium, Kigali, Rwanda | Rwanda | 1-0 | 1-0 | Okusunsulamu kw'empaka za FIFA World Cup 2022 |
6. | 10 Ogwekkumi 2021 | Ekisaawe kya St. Mary's-Kitende, Entebbe, Uganda | 1-0 | 1-0 | ||
7. | 11 Ogwekkuminoogumu 2021 | Kenya | 1-1 | 1-1 |
Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ kawowo.com/2019/08/25/bayo-hits-brace-revita-sees-red-as-vipers-lift-super-8/
Obulandira obulala
[kyusa | kolera mu edit source]- Fahad Bayo ku FootballDatabase.eu