Jump to content

Mary Karooro Okurut

Bisangiddwa ku Wikipedia
Revision as of 16:30, 18 Gwamusanvu(Kasambula) 2024 by Ssemmanda will (yogera nange | byawaddeyo) (#WCUG2024 Added a photo of Busingye Mary Okurut.jpg)
(enjawulo) ←Laba ebyasookawo bino | Oluwandika oluliwo kakati (enjawulo) | Oluwandika oluddako→ (enjawulo)
Busingye Mary Okurut.jpg

Mary Busingye Karooro Okurut (yazalibwa nga 8 ntenvu 1954), bangi gwe bamanyi nga Mary Karooro Okurut, munna Yuganda omusomesa, omuwandisii wa bitaabo era muna byabufuzi. Ye minista w'emirimo mu offisi ya Kattikiro w'egwanga. Yalondebwa mw'ekyo ekifo nga 6 sesbo aseka 2016.[1] Mabega'ko okuva nga 1 mugula nsigo 2015 okutusa nga 6 sebo aseka 2016, yali awereza nga minista w'ebyokwerinda bya Uganda ng'ada mu bigere bya, Wilson Muruli Mukasa, gwe baawa obwa minista bw'enkula wamu nensonga z'abantu ba buligyo ( Minister of Gender and Social Issues).[2] Karooro ye yali mukifo kino nga Muruli Mukasa tana'kigendamu. Yakigendamu mu 2012 ng'adda mu bigeere bya Syda Bumba, eyali alekulide obwa minista. Mary Karoro Okurut era akkikirira abuntu ba Bushenyi Distulikiti nga omubaka w'abakyala mu palamenti ya Yuganda.

Gyenvude wamu N'okusooma kwe

[kyusa | kolera mu edit source]

Bamuzalira mu Bushenyi District nga 8 ntenvu 1954. Yasoomera Bweranyangi Primary School ne Bweranyangi Girls' Senior Secondary School okutusa ku siniya eyokkuna. mu 1972, ng'alina emyaka 18, yayingira Trinity College Nabbingo okusooma siniya eyokutaano ne'yomukaga we'yava neyeyunga ku Makerere University, weyasoomera digulli mu ntonda n'okuwandika olulimi olungereza gyebayita (Bachelor of Arts in Literature (BA.Lit) nebamutikkira mu 1977. Oluvanyuma lwe myaka esatu mu 1981, bamutikkira diguli ey'okubiri mu ntonda nokuwandika olulimi olungereza (Master of Arts in Literature (MA.Lit), nga nayo yagisomeera Makerere University. Mu 1982, yayongerako dipuloma mu kusoommesa (Diploma in Education (Dip.Ed), okuva ku Univasite yemu.[3]

Ebyafaayo mu ku'kola

[kyusa | kolera mu edit source]

Mary Karooro Okurut yatandika nga omusommesa e' Makerere, mu kitongole kya Literature mu 1981 nga yakamaala diguli ye eyokubiri. yasigala mu busoomessa okutusa 1993. yafuna omulimu nga omuwandisi w'ebyamawulire (press secretary) w'omumyuka w'omukulembeze w'egwanga okuva 1994 okutusa 1966. wakati wa 1996 ne 1999 yawereza nga munna kakkiko w'akakkiko k'enkola y'ebyobuyigirize mu minisitule y'ebyobuyigirize bya Uganda. okuva 1999 kutusa 2004, yakola nga omuwandisi w'ebyamawulire mu woffisi y'omukulembeze w'egwanga. mu 2004 yayingira ebyobufuzi.[4]

Emirimu gye egy'okuwandika obutabo

[kyusa | kolera mu edit source]

Nga tanayingira byabufuzi, Okurut yali amanyidwa nyo kulw'okutumbula okuwandika mu Uganda ng'omuwandisi w'obutabo era eyatandikawo ekibbina kya Abakazzi ba Uganda abawandisi ekya (FEMRITE),[5] ekitongole kino kyamanyikiibwa nyo mu mawanga g'ebweru era kyafuna n'omu ku bantu abali bawangudeko ekirabo kya Caine Prize, Arach Monica de Nyeko, akagero ke aka "Jambula Tree" lwe kawangula mu 2007.[6]

Ebimu ku bitaabo Karooro Okurut by'awandise walimu obutaabo nga: (a) "The Invisible Weevil" (1998) (ISBN 9789970901029 ) ne (b) "The Official Wife" ( ISBN 9789970024018). yakola enongosereza wamu nokwongera okuwandika mu "A Woman's Voice" (1998) (ISBN 9789970901036 ), nga kano kataabo akagata obbugeero bw'abawandisi abakyala banna Yuganda.[7]

gyenvudde we muby'obufuzi

[kyusa | kolera mu edit source]

mu 2004, Mary Karooro Okurut yesimbawo ng'omubaka omukyala owa distulikiti ye Bushenyi ku kakonge ka National Resistance Movement. Yawangula era akkikilira distulikiti eno mu palamenti ya uganda paaka kati. yawerezako nga minista w'ebyamawulire n'okulungamya egwanga (Minister of Information and National Guidance) okuva mu Muzigo wa 2011 okutusa Muzigo wa 2013.[8] mu kukyukyusa ba minista ba Gavumenti nga 1 Mugulansigo 2015, yalondebwa nga minista w'eby'okwerinda mu Uganda.[2] era esaawa eno akola nga minista w'emirimo mu woffisi ya kattikiro w'egwanga [9]

Mary K. Okurut yali mufumbo nga baawe ye Hon. Stanislaus Okurut okutusa nga 5 Kafuumuulampawo 2014 baawe lwe yaafa; bbalina abaana munana – abalenzi bataano n'abawala basatu. mu kulisitayo mu nzikiriza.[10][11]

Laaba ne bino

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. "Archive copy" (PDF). Archived from the original (PDF) on 2020-06-25. Retrieved 2021-03-29.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  2. 2.0 2.1 "Archive copy" (PDF). Archived from the original (PDF) on 2017-07-09. Retrieved 2021-03-29.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  3. https://web.archive.org/web/20140223024240/http://www.parliament.go.ug/mpdata/mps.hei?p=f&n=t&details=t&j=301&const=Woman+Representative&dist_id=53&distname=Bushenyi
  4. https://web.archive.org/web/20140413131935/http://www.parliament.go.ug/mpdata/mps.hei?%20p=f&n=t&details=t&j=301&const=Woman+Representative&dist_id=53&distname=Bushenyi
  5. "Archive copy". Archived from the original on 2021-04-22. Retrieved 2021-03-29.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  6. "Archive copy". Archived from the original on 2021-04-17. Retrieved 2021-03-29.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  7. https://www.africanbookscollective.com/authors-editors/mary-karooro-okurut
  8. https://web.archive.org/web/20140224120024/http://www.prauganda.com/about-us/prau-patrons/112-mary-b-karooro-okurut.html
  9. https://opm.go.ug/general-duties/
  10. "Archive copy". Archived from the original on 2019-08-28. Retrieved 2021-03-29.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  11. https://www.newvision.co.ug/news/654362-mps-pay-tribute-to-stanislaus-okurut.html