Enkima (Chlorocebus aethiops, Cercopithecus aethiops) Enkima kisolo kya mu kibira era nga kisula ku muti. Okumanya mu butonde enkima kisolo kya ku miti, bw'olaba engeri gye yeebongera ku miti awatali kutya kwonna, ne bw'eba ng'esitudde omwana gwayo, oyinza okulowoza eri wansi ku ttaka. Olw'engeri abantu gye bagenze basaanyaawo ebibira okusobola okufuna aw'okubeera n'aw'okulimira, omuwendo gw'ebisolo bino gugenze gukendeera mu bitundu bingi mu nsi. Kyokka zo enkima mu kaweefube waazo owa buli lunaku ow'okunoonya eby'okulya ebifuuse eby'ekkekwa gye ziri, ziba tezikyalina kya kukola wabula okulumba abantu we babeera ne zirya ebirime byabwe.

Enkima

Kale nno, emu ku nsonga enkulu ezandituleetedde okukuuma ebibira byaffe obutabisaanyaawo kwe kuba nti tutaasa enkima n'ebitonde ebirala eby'omu bibira obutasaanawo.

Enkima gwe gumu ku miziro gy'Abaganda era mu Buganda, enkima ziyitibwa amannya ag'enjawulo okusinziira ku nkula n'endabika yaazo. Agamu ku mannya ago ge gano; Nakabugo,